John 12

Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya

1 aBwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 2 bNe bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 3 cAwo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.

4 dNaye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5“Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6 eYayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.

7 fYesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8 gAbaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”

Olukwe olw’Okutta Laazaalo

9 hAwo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11 ikubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

12Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, 13 jne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,

“Ozaana.”

“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ye Kabaka wa Isirayiri.”
14Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,

15 k“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;
laba Kabaka wo ajja,
nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”
16 lEbyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.

17 mAbo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18 nAbantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 19 oAwo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”

Abayonaani Baagala Okulaba Yesu

20 pNaye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako 21 qne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.” 22Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.

23 rYesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe. 24 sDdala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi. 25 tBuli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. 26 uOyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”

Yesu Ayogera ku Kufa kwe

27 v “Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28 wKitange gulumiza erinnya lyo.”

Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.”
29Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30 xYesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31 yEkiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 zBwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33 aaEkyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

34 abAwo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35 acYesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36 adKale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.

37 aeKyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38 afEkigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,

“Mukama ani akkiriza bye tugamba?
Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
39Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,

40 ag“Katonda yabaziba amaaso,
era n’abakakanyaza emitima,
amaaso gaabwe galeme okulaba,
era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,
era gireme okukyuka, mbawonye.”
41 ahEbyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.

42 aiEra waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43 ajKubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

44 akAwo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 45 alN’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 46 amNze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.

47 an “Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 48 aoKyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 49 apKubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”

Copyright information for LugEEEE